Isaiah 24

Mukama Ayogera ku Kuzikiriza Ensi

1 aLaba Mukama alifuula ensi amatongo,
agimalirewo ddala,
era azikirize n’obwenyi bwayo
era asaasaanye n’abagibeeramu.
2 bBwe kityo bwe kiriba,
ekiriba ku kabona kye kiriba ne ku bantu,
ekiriba ku mwami kye kiriba ne ku muweereza omusajja,
ekiriba ku mugole we kye kiriba ne ku muweereza we omukazi,
ekiriba ku atunda kye kiriba ne ku muguzi,
ekiriba ku awola kye kiriba ne ku yeewola,
ekiriba ku abanja kye kiriba ne ku abanjibwa.
3 cOkumalibwamu ensa, ensi erimalibwamu ddala ensa,
n’okunyagibwa, erinyagibwa.
Mukama Katonda y’akyogedde.

4 dEnsi ekala n’eggwaamu obulamu,
ensi ekala n’ewuubaala,
abantu ab’ekitiibwa baggwaamu amaanyi.
5 eEnsi eyonooneddwa abantu baayo,
bajeemedde amateeka,
bamenye ebiragiro,
ne bamenyawo n’endagaano ey’emirembe n’emirembe.
6 fNoolwekyo ekikolimo kimalawo ensi;
n’abantu baayo bateekwa okusasula olw’omusango ogwabasinga.
Abatuuze b’ensi bayidde,
Era abatono be basigaddewo.
7 gWayini omusu aggwaamu, n’omuzabbibu gukala,
ab’amasanyu bonna bakaaba olw’obulumi.
8 hOkujaguza kw’ebitaasa kusirise,
n’oluyoogaano lw’abo ababeera mu masanyu lusirise,
entongooli esanyusa esirise.
9 iTebakyanywa nvinnyo nga bwe bayimba,
n’omwenge gukaayira abagunywa.
10Ekibuga ekyazikirizibwa kisigadde nga matongo,
na buli mulyango oguyingira mu nnyumba guzibiddwa.
11 jBakaabira envinnyo mu nguudo,
n’essanyu lyonna liweddewo,
n’okujaguza kwonna tekukyaliwo mu nsi.
12Ekibuga kizikiridde
wankaaki waakyo amenyeddwamenyeddwa.
13 kBwe kityo bwe kiriba ku nsi
ne mu mawanga
ng’omuzeyituuni bwe gunyeenyezebwa
oba ng’ebinywa ebisigaddewo bwe bibeera oluvannyuma lw’okukungula kw’ezabbibu.

14 lBayimusa amaloboozi gaabwe, baleekaana olw’essanyu,
batendereza ekitiibwa kya Mukama Katonda okuva mu bugwanjuba.
15 mNoolwekyo abo abali mu buvanjuba mugulumize Mukama,
mutendereze erinnya lya Mukama Katonda wa Isirayiri,
mu bizinga eby’ennyanja.
16 nTuwulira okuyimba okuva ku nkomerero y’ensi,
“Ekitiibwa kibeere eri Omutuukirivu.”

Naye ne njogera nti, “Nsanawo, nsanawo.
Zinsaze.
Ab’olukwe balya mu bannaabwe olukwe,
Ab’enkwe bakozesa enkwe okulya mu bannaabwe olukwe.”
17 oEntiisa n’obunnya n’omutego bibalindiridde,
mmwe abantu b’ensi.
18 pBuli alidduka eddoboozi ery’entiisa,
aligwa mu kinnya,
na buli alirinnya n’ava mu kinnya
alikwatibwa mu mutego.

Enzigi z’eggulu ziguddwawo,
N’emisingi gy’ensi gikankana.
19 qEnsi emenyeddwamenyeddwa,
ensi eyawuliddwamu,
ensi ekankanira ddala.
20 rEnsi etagala ng’omutamiivu,
eyuugayuuga ng’akasiisira bwe kayuugayuuga mu kibuyaga,
omusango gwe gumulumiriza nnyo olw’obujeemu bwe,
era ensi egwa n’etaddamu kuyimuka.

21 sKu lunaku olwo Mukama Katonda alibonereza
ab’amaanyi abali waggulu mu bwengula,
ne bakabaka abali wansi ku nsi.
22 tBalikuŋŋaanyirizibwa wamu
ng’abasibe bwe bakuŋŋanyirizibwa mu kkomera,
era baliweebwa ekibonerezo
eky’okuggalirwa mu kkomera ennaku ennyingi.
23 uOmwezi gulitabulwatabulwa, n’enjuba eriswazibwa;
Mukama Katonda ow’Eggye alifugira mu kitiibwa
ku Lusozi Sayuuni ne mu Yerusaalemi,
ne mu maaso g’abakadde.
Copyright information for LugEEEE